Obulabirizi bwe Namirembe bwankizo mu kuzimba abakulembeze b’ekkanisa ya Uganda, era ettendekero ekkulu mu kkanisa ya Uganda eritendeka abaawule naababulizi, lisangibwa mu bulabirizi bwe Namirembe.
Ettendekero lya Uganda Martyrs seminary Namugongo libangudde abakulembeze abenjawulo mu kkanisa ya Uganda okuli Ssaabalabirizi owomwenda, The most Rev Dr Samuel Steven Kazimba Mugalu, omulabirizi w’e Namirembe agenda okuwummula Rt Rev Wilberforce Kityo Luwalira, omulabirizi wa Bukedi, Rt Rev Samuel Egesa, owe Mityana Rt Rev Dr. James Bukomeko Ssalongo, owa Busoga Rt Rev Naimanhye, owe Sebei Rt Rev Paul Masaba Kipto N’abalala.
Ettendekero lino lyatandikibwawo mu mwaka gwa 1976, okujjuukirirako abajulizi abattibwa olw’eddiini mu mwaka gwa 1886 nga 3 June.
Lisangibwa ku kijjukizo ky’abajulizi abakulisitaayo ekikulu ekye Namugongo ki Uganda Anglican Martyrs Shrine site Namugongo.
Ettendekero lino lyakakasibwa okuwa ebbaluwa z’obuyigirize eri abakuguse mu by’eddiini kyokka olwenkolagana gyeririna ne ssetendekero wa Uganda Christian University, (UCU), likkirizibwa okubawa amabaluwa ku mutendera gwa diploma.
Akulira eby’enjigiriza mu bulabirizi bwe Namirembe, Rev Nathan Mulondo, agambye nti ettendekero lino lyongedde okugaziyizibwa, era lyatandise n’okubangula abantu ababulijjo mu masomo ag’enjawulo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis