Akakiiko kéddembe lyóbuntu kalabudde akulira ekibiina kyebyobufuzi ekya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Sentamu Bobi wine nti koolekedde okugoba okwemulugunya kwe kweyatwalayo, ng’alumiriza government okusazaamu ebivvulu bye byeyali ategeae emyaka 4 egiyise.
Ssentebe w’akakiiko Mariam Wangadya y’alangiridde entegeka y’okugoba omusango guno oluvannyuma lwa Kyagulanyi obutalabikako mu kakiiko mu buntu okuwulira omusango gwe, kyokka nasindika bannamateeka be abakulembeddwamu Benjamin Katana ne George Musisi okumukiikirira.
Bannamateeka bano bagambye akakiiko nti omuntu wabwe abaddeko emirimu emitongole gyabaddeko wabweru wa Kampala.m bwebatyo nebasaba ajje oluvannyuma lw’ennaku 2 awe obujulizi.
Wabula ensonga eno enyiizizza akakiiko nga kagamba Kyagulanyi yennyini azze akalumiriza nti tekaagala kukola ku nsonga zabwe, ntibkyokka bwekamuyise ate neyebulankanya.
Ssentebe w’akakiiko kano Mariam Wangadya ategeezezza Bannamateeka ba Kyagulanyi nti akakiiko kákuddamu okubayita, era gwegunaabeera omulundi ogusemba nga bwebebulankanya ensonga kákuzigoba.
Mu kwemulugunya kuno okwaloopwayo mu 2018, Kyagulanyi alumiriza Government ya Uganda okulinnyirira eddembe lye, oluvanyuma lwokusazaamu ebivvulu ebisukka 30 okwetoolola eggwanga byeyali ateekeddwa okuyimbiramu.
Bino webigidde ng’akakiiko kakamala okuwuliriza okwemulugunya kweyaliko president wa FDC Dr.Kiiza Besigye olwa police okulumba ekitebe kyabwe ng’okulonda kwa 2016 kwakaggwa, nebawambibwako ebintu byabwe byebaali bakozesa okubala ebyali bivudde mu kulonda.
Besigye yagambye nti akimanyi bulungi nti yeyali awangudde akalulu.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam