Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabalenzi abatasussa myaka 20 eya Uganda Hippos, etandise nabuwanguzi mu mpaka za All Africa Games eziyindira e Ghana ekubye Nigeria goolo 2-1.
Uganda Hippos okuwangula omupiira guno evuddeko mabega, era goolo ezigiwadde obuwanguzi ziteebeddwa Usama Arafat mu dakiika eya 34 ne Ivan Irinimbabazi mu dakiika eya 80.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Accra Sports Stadium.
Abamu ku bazannyi abatandise ku ttiimu ya Uganda Hippos ye Bruno Bunyaga, Abdul Magada, Harunah Lukwago, Ibrahim Juma, Abas Kyeyune, Patrick Kakande nabalala.
Uganda Hippos ejja kudda mu kisaawe nga 11 March,2024 okuzannya ne Senegal ate esembyeyo South Sudan nga 15 omwezi guno mu kibinja B.
Omutendesi wa Uganda Hippos, Morley Byekwaso, yatwala ttiimu yabazannyi 20 okwetaba mu mpaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe