Ministry y’eby’obulimi, obulunzi n’obuvubi mu ggwanga erangiridde nti amakungula ga Vanilla agaddako gatandika nga 17 July,2023, neerabula abalimi obutageza kukungula vanilla akyali omuto.
Minister omubeezi ow’eby’obulimi Fred Bwino Kyakulaga y’alangiridde amakungula gano, abadde ku Media centre mu Kampala.
Minister Fred Kyakulaga abadde awerekeddwako abakungu okuva mu bibiina ebitumbula obulimi n’obusubuuzi bwa Vanilla okuli aba Catholic Relief Society n’aba Vanilla Exporters of Uganda.
Balabudde abalimi ba Vanilla nti okukungula ensigo za Vanilla ento kimuleetera obutabaamu kawoowo nekitta omutindo, nga kw’okwonoona akatale ka vanilla wa Uganda
Minister Fred Bwino Kyakulaga era tegezezza nti bateekateeka ebbago erinayambako okulungamya okulima vannila mu ggwanga lino, n’okuvunaana ababba vanilla ku misiri.
Rosemary Nanyonga akulira ekitongole Kya Police eky’obulimi ekya Agricultural Police ategezezza nti agenda kuyungula abasirikale ba police abagenda okukwatagana n’abadduumizi ba police mu bitundu, okulondoola ababba vanilla ku misiri.
Okusinzira ku Ministry y’eby’obulimi, Uganda erimu abalimi ba Vanilla emitwalo 65000.
Uganda ekwata ekifo kisooka mu kulima Vanilla mu mawanga ga East Africa ate ku lukalu lwa Africa eri mu kifo kya kubiri eddirira Madagascar.
Mu kiseera kino Kiro ya Vanilla emu ayengedde obulungi eggulwa emitwalo gya shs 40,000.
Bisakiddwa :Mukasa Dodovico