Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Table Tennis mu Uganda ekya Uganda Table Tennis Association, kikakasizza abazannyi 3 abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka za Table Tennis Africa Cup ezigenda okubeera mu kibuga Kigali ekya Rwanga omwaka guno 2024.
Abazannyi bano ye Patience Anyango, Parvin Nangonzi ne Samuel Ankunda.
Empaka za Table Tennis Africa Cup of Nations zigenda kubeerewo nga 12 May,2024 e Rwanda.
Empaka zino era zigenda kukola ng’akasengejja akasembayo ak’okusunsulamu abazannyi abanakiikirira Uganda mu mpaka zq Olympics ez’omwaka guno ezigenda okubeera mu kibuga Paris ekya Bufalansa zitaandika mu July.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe