Dr Omagino John, ssenkulu w’eddwaliro ly’emitima erye Mulago, erya Mulago Heart Institute, agamba nti bakizudde nga mu Uganda ku buli bantu 4 omu kubbo abaako nekizibu ku mutima.
Mu Uganda abaana abato bebaasinga okukosebwa endwadde z’emitima
Agamba nti kati endwadde z’emitima zikwata 4 mu kutta abantu olwokuba zaabuseere, ate bezikwata batuuka kikeerezi mu malwaliro okufuna obujjanjabi.
Dr. John Omagino era annyonyodde nti batandise omulimu gw’okuzimba eddwaliro eddene webanakakalabiza emirimu gyobujjanjabi bw’endwadde z’emitima, ng’eddwaliro lino lisuubira okulongoosa abalwadde nga 5,000 buli mwaka, okuva ku balwadde waati 500-600, beribadde likolako e Mulago.
Dr Omagino agamba nti obukadde bwa doola za America 70 obwabaweebwa parliament okuzimba eddwaliro eryomulembe okukajjanjaba emitima, nti zakubayambako n’okwongera kubakugu okuva ku basawo 129 bebalina wakiri okutuuka ku muwendo gwabasawo b’emitima 700 abeetagibwa mu ggwanga.
Eddwaliro lino e Naguru erizimbibwa litudde ku yiika z’ettaka 10.