Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa Cricket mu Uganda ekya Uganda Cricket Association, kirangiridde John Walusimbi okukulira ebyemirimu mu kibiina kino, era emirimu gye agitandikiddewo.
John Walusimbi alondeddwa okudda mu bigere bya Allan Mugume eyasuulawo omulimu guno mu December 2023.
Allan Mugume yali yadda mu bigere bya Martin Ondeko mu June wa 2022, kyokka endagano ey’emyaka 3 teyagimalako natekamu okusaba okuwumula emirimu gino mu December omwaka oguwedde.
Okulondebwa kwa John Walusimbi kugidde mu kiseera nga Uganda Cricket Association yetegekera empaka ennene ddala eza ICC T20 Cricket World Cup.
Tiimu ya Ugand eya Cricket Cranes egenda kwetaba mu mpaka zino omulundi gwayo ogusookedde ddala, nga empaka zino zigenda kubeerawo omwaka guno 2024 mu America ne West Indies.
Mungeri yeemu ne ttiimu ya Cricket ey’abakazi eya Victoria Pearls nayo egenda kwetaba mu mpaka za World Cup Global Qualifiers ezigenda okubeera e Dubai.
Government ya Uganda ng’eyita mu National Council of Sports yateeka omuzannyo gwa Cricket ku lukanganga lw’emizannyo gy’etekeddwa okuvugirira emyaka 2 egiyise.
Werutuukidde olwaleero nga ekibiina kifuna ensimbi akawumbi 1.2 okuva ku bukadde 500 National Council of Sports zeyatandikirako okuwa omuzannyo guno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe