Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya bakazi eya Crested Cranes, eyongedde okulaga amaanyi mu mpaka za Cecafa Senior Women Championships.
Crested Cranes ekubye Djibouti goolo 5 – 0 neyesogga omutendera oguddirira ogw’akamalirizo.
Empaka zino ziyindira ku FUFA Technical Center e Njeru mu Buikwe.
Goolo eziwadde Uganda obuwanguzi ziteebeddwa abazannyi Aisha Nantongo, Margret Namirimu, Sandra Nabweteme, Fazila Ikwaput ne Phionah Nabbumba.
Omutendesi wa Crested Crane George Lutalo agambye nti wadde bawangudde Djibouti, nti naye tegubadde mupiira mwangu nakatono.
Uganda kati yakuzannya omupiira gwayo ogusembayo mu kibinja A ku Sunday eno, ng’ettunka ne Burundi ate Rwanda ettunke ne Djibouti.
Omupiira omulala oguzanyiddwa Burundi ekubye Rwanda goolo 2 – 1.
Uganda ne Burundi basibaganye ku bubonero 6.
Rwanda ne Djibouti bawanduse.
Uganda ne Burundi empaka zino bazigendereddemu kwetegekera empaka za Africa Women Cup of Nations, ez’omwaka guno 2022 zigenda kubeera Morocco.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe