Ttiimu yéggwanga eyómupiira ogwébigere eya Uganda Cranes ekubye ttiimu y’amasaza ga Buganda goolo 2-1.
Tiimu y’amasaza yalondeddwa okuva mu mpaka z’a masaza ga Buganda ezómwaka ogwaggwa 2021.
Omupiira guno gubadde gwa mukwano,guyindidde mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso munteekateeka ya Cranes Regional Tour.
Goolo eziwadde Uganda Cranes obuwanguzi zitebeddwa Farouk Miya ne Ssaka Sharif ate Abdallah Ssentongo owéssaza Buddu natebera ttiimu ya Buganda.
Uganda Cranes omupiira guno egumazeko nabazannyi 10 olwa Emmanuel Mukisa okuweebwa kaadi emyufu.
Omutendesi wa ttiimu y’amasaza ye Richard Malinga owa Mawokota ng’abadde aamyukibwa Mulindwa Frank owa Buwekula.
Manager wa tiimu ye Kiwanuka Sulaiman.
Uganda Cranes kati egenda kuddako kuzannya ne ttiimu eyawamu eya Kampala Region enkya ku lwómukaaga nga 16 April ,2022 mu kisaawe kya St Mbaga Seminary e Ggaba.