Ttiimu yeggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes esitudde olweggulo lwaleero egenze e Tunisia, gy’egenze okukuba enkambi okwongera okutendekebwa okwetegekera empaka za Chan ezigenda okubeera mu Algeria okuva nga 13 omwezi guno ogwa January.
Mu Tunisia gy’egenze era egenda kuzannyamu emipiira egyomukwano ne ttiimu ezenjawulo okwongera okwetegekera empaka zino.
Ttiimu egenze n’abazannyi 25 n’omutendesi Milutin Micho Sredojevic, era mu mpaka za Chan eri mu kibinja B ne Dr Congo, Ivory Coast ne Senegal era egenda kuzannya omupiira gwayo ogusooka nga ettunka ne Dr Congo nga 14 omwezi guno.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe