Uganda Cranes egudde maliri ne tiimu ya Niger ku goolo 1 – 1, mu mpaka z’okusunsulamu amawanga aganaakiika mu mpaka z’ekikopo kya AFCON 2023 mu Ivory Coast.
Omupiira guno guzanyiddwa mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende wakati mu bawagizi abazze mu bungi okuwagira ttiimu yabwe, wabula Uganda era obuwanguzi bugibuze.
Uganda Cranes yesoose okuteeba mu kitundu ekisooka, ne Niger n’egibaza negisonseka akatimba mu kitundu ekyokubiri.
Miluton Kariisa yateebedde Uganda ate Muhamoud Sabo n’ateebera Niger.
Uganda efunye emikisa egiwerako okuyita mu bazannyi okuli Miya Farouk, Emmanuel Okwi ne Fahad Bayo naye balemereddwa okuteeka omupiira mu katimba.
Abamu ku bazannyi abatandise ku ttiimu ya Uganda Cranes olwaleero ye Charles Lukwago, Bevis Mugabi, Halid Lwaliwa, Aziz Kayondo, Khalid Aucho, Allan Okello, Bobosi Byaruhanga nabala.
Uganda mu mipiira 2 ebiri gyeyakazannya efunyeyo akabonero 1, mu gwasooka Algeria yagikuba goolo 2 – 0.
Kati Uganda yakuddamu okuzannya mu September omwaka guno ng’esamba Tanzania emipiira 2,wano n’okugikyalira.
Mu kibinja kye kimu F, Tanzania bagikubidde ewaka waayo, Algeria egikubye goolo 2 – 0
Algeria ekulembedde ekibinja kino F nobubonero 6, Niger obubonero 2, Tanzania ne Uganda bonna balina akabonero 1 buli omu.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe