Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kisazeewo nti ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes omupiira gwayo n’egenda okuzannya ne Tanzania egukyalize Misiri, mu mpaka z’okusunsulamu ensi ezinakiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2024 eziribeera mu Ivory Coast.
Uganda Cranes mu mpaka z’okusunsulamu zino, eri mu kibinja F ne Algeria, Niger ne Tanzania.
Mu kiseera kino Uganda terina bisaawe bituukana n’omutindo gwa FIFA ne CAF, olwo FUFA kwekusalawo nti Uganda Cranes abagenyi bezannya nabo nga 20 omwezi ogujja ogwa March, ebatwale Misiri, wabula ekisaawe tekinakakasibwa.
Okusinziira ku President wa FUFA Eng. Moses Magogo, Uganda yakugira yeyazika ku bisaawe bye Zambia, Misiri oba Malawi, mu mipiira gyayo gy’erina okuzannyira awaka, olw’ekisaawe kye Namboole okuba nga tekiri mu mbeera nnungi.
Uganda emipiira 2 gye yakazannya mu mpaka z’okusunsulq yakafunayo akabonero 1, Algeria ekulembedde ekibinja n’obubonero 6, Niger obubonero 2 ate Tanzania akabonero 1.
Empaka za Africa Cup of Nations zakubeerawo mu January ne February 2024 mu Ivory Coast.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe