Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes ekomyewo olwaleero okuva mu Algeria, okwetegekera omupiira ogw’okubiri gw’egenda okuzannya ne Niger ku lw’okusatu luno nga 8 June.
Empaka zino zezokusunsulamu amawanga agagenda okukiika mu mpaka za AFCON 2023 ezinabeera mu Ivory Coast.
Mu mupiira ogwasoose Uganda Cranes yakubiddwa Algeria goolo 2 – 0.
Olukomyewo mu ggwanga ttiimu etuukidde mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende okwongera okutendekebwa.
Omukungu mu FUFA era nga yeyakulemberamu ekibinja kya Uganda Cranes mu Algeria, Samuel Mpiima, agambye nti ttiimu etambudde bulungi okutuuka kuno era abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi ddala.
Asabye banayuganda obutagwamu maanyi wabula bongere okuwagira ttiimu ku lwokusatu nga 8 June, esobole okuwangula Niger mu mukisaawe e Kitende.
Omutendesi wa Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, agambye nti wadde Algeria yakubye Uganda, nti naye omupiira guno baagufunyemu ebyokuyiga bingi ddala.