Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwabga ekya Uganda Bureau of Statistics UBOS kisazeewo okudduukirira ab’enganda z’abantu abaafiiridde ku mulimu gw’okubala bannauganda okugenda mu maaso Census 2024, buli maka agaafiiriddwa gakuwebwa obukadde bwa shs 3.
Abakozi abafunye obuzibu kuliko Andrew Ssali yatiddwa abazigu mu bitundu bye Najjeera ku njogoyego za Kampala, ngaddayo ewaka oluvanyuma lw’okubala abantu.
Buikwe mu Njeru municipality waliyo James Kalyango yakubiddwa emiggi akyapookya n’ebisago.
Mu district ye Namayingo waliyo omukyala Annet Tibuwa agambibwa okukutuka naafa bweyabadde akola emirimugye egy’okubala abantu.
Okusinziira ku Martin Mangeni, akulira ebyebibalo mu district ye Namayingo, Tibiwa yabadde mutuuze ku kyalo Bumeru C, mu muluka gwe Buchimo mu ggombolola ye Mutumba, nti wabula balabidde awo ng’agwa wansi nagwamu amaanyi, bagezezzakko okumuddusa mu kalwaliro ka Shalom Medical Centre wabula teyasobodde kulama.
Wabula Joshua Ssekaliga omukungu mu kitongole kyebyamawulire mu UBOS, agamba nti abantu abakakasibwa okufiira ku mulimu bali 3 okuli owe Najjeera, e Kiruhuura ne Namayingo, era ekitongole kyakuwayo obukadde bwa shs 3 eri ab’oluganda lw’abantu bano okuziyambako mu by’okuziika.
Mungeri yeemu Ssekalega Joshua, ategezezza cbs nti UBOS era esaazeewo, okusasula ebisale bya James Kalyango, eyafumitiddwa ebiso nga kati akyali mu ddwaliro apookya nebisago mu district ye Buikwe mu municipal ye Njeru.
Omulimu gw’okubala abantu gwatandika nga 10 May, gwakukomekkerezebwa nga 19 May,2024.
Bisakiddwa: Ddungu Davis