Uganda erina abantu obukadde 45,905,417 okusinziira ku alipoota efulumiziddwa ekitongole ky’ebibalo mu ggwanga, bwebadde efulumya alipoota eyenkomeredde eyava mu kubala abantu mu May 2024.

Abantu obukadde 11.3 bebeyongeddeko bw’ogeraageranya n’obuwendo ogwabalibwa mu 2014.
Abakyala bebasinga obungi mu Uganda. baweza ebitundu 53%.

Alipoota eraze nti Abaganda bebasiinga obungi mu Uganda, nebaddirirwa abanyankole, abasoga, abateeso n’abalala.

Abantu abaabalibwa okusinziira ku nzikiriza zaabwe, ebivaayo biraga nti abakatuliki bebakyasiinga obungi, baddirirwa aba protestant, abalokole n’abasiraamu.

Alipoota eraze nti banna Uganda ebitundu 61%, nga besigamizibwa ku bantu abebeera bonna mu maka abali mu bufumbo obutukuvu n’obutali.
Abaana abato abali wakati w’emyaka 0 -17 bebasiinga obungi baweza ebitundu 50%, abavubuka bali ebitundu 23.5%.

Alipoota eraze nti banna Uganda abatalina yadde akakonge k’obuzaale (Birth Certificate) bakola ebitundu 57%, ebitundu 11.4% balina obukonge buli obukadde obuwanvu, ate abaana abatanaweza myaka 5 ebitundu 11% bebalina obukonge obumpi government bweyasalawo okukozesa kaakano, naabalala ebitundu 10% abaana abatanaweza omwaka gumu bebalina obukonge bw’obuzaale.
Mu ngeri yeemu alipoota eraze nti bannauganda ebitundu 41.7% tebalina wantu wonna wamanyiddwa mu mateeka webeterekera ku nsimbi zebakola.

Dr . Chris Ndatira Mukiza, Ssenkulu wa UBOS bwabadde asoma alipoota eno ku Serena Hotel mu Kampala, agambye nti ebyafulumiziddwa mu alipoota eyasooka eraga omuwendo gw’abantu bonna tekyuse, era nti abantu bali obukadde 45.905,417, nga gweyongedde n’obukadde 11.3 okuva ku bantu abaabalibwa mu mwaka 2014.
Agambye nti mu kubala kwa 2024 kulaze nti abantu abasobola okusoma n’ouwandiika mu Ugnda abali mu bitundu 74%.
Abantu abasobola okufuna amazzi amayonjo bali mu bitundu 81%.


Fred Vincent Ssenono, omukugu mu byebibalo mu UBOS, era omumyuka wa ssenkulu w’ekitongole kino, anyonyodde nti abantu abasinga obungi mu Uganda obubaka babufunira ku ssimu, olwo Radio n’ekwata ekyokubiri, n’emikutu emirala n’egyigoberera.