President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa akkiriza bamusiga ensimbi okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kidepo Valley National Park .
Museveni abadde mu ensisinako n’abakungu b’ekibiina kya Sharjah Chamber of Commerce and Industry okuva mu United Arab Emirates abakulembeddwamu ssentebe w’olukiiko olufuzi Abudallah Sultan Al Owais, abasisinkanidde mu Maka gwobwa president Entebbe.
President alagidde bamusiga ensimbi bano okubeera abegendereza nga bazimba ekisaawe ky’ennyonyi obutakosa bisolo ebikuumibwayo.
Gen Museveni abasuubizza okubasonyiwa egimu ku misolo singa enteekateeka gyebamwajulidde enatuukirizibwa bulungi, nti kubanga esuubirwa okwongera okutumbula eby’obulambuzi mi Uganda.
Ssentebe wa Sharjah Chamber of Commerce and Industry Abdallah Sultan abuulidde president nti ekisaawe nga kiwedde, kijja kuba n’obuwanvu bw’ekifo ennyonyi wezibuukira kya meters 3500, era kijja kuba kisobola okugwako ennyonyi ennene ekika Kya Boeing.
Ensisinkano yetabiddwamu Sabawolereza wa Government ya Uganda Kiryowa Kiwanuka, minister omubeezi owebyetambula Fred Byamukama Saako minister avunanyizibwa ku ensonga z’amawanga amalala Okello Oryem.
Kidepo Valley National Park essangibwa mu bitundu bye Kalamoja, ng’ewezaako obwagaagavu bwa 1442 sq km.
Yetooloddwa obusozi bwa Murungole mount.
Kidepo ekuumibwamu enkumi n’enkumi z’ebisolo, ebinnyonyi, omuddo n’ebintu ebirala bingi ebyomuttale ebisikiriza abalambuzi.
Ekinyonyi ekiyitibwa Maaya kye kimu ku bintu ebisikiriza okulabako ebiri mu kkuumiro ly’ebisolo lino, era nga wano mu Uganda gyebisinga okubeera ebingi, mpozzi n’ebifo by’obwannanyini nga ekya Chakig Eco Tourism Centre ekisangibwa mu district ye Mukono.
Ensolo eziri mu Kidepo waliyo; Entugga, Entulege, Enjovu, Embogo, Empologoma, n’endala ezisikiriza abalambuzi.#