
Bannakinku mukuzanya film Omwami n’omukyala Will ne Jada pinkett Smith,emitima gibali ku mitwe ng’eyabuulira owolugambo,anti bandirekera awo okuddamu okulabikira Ku mukutu gw’amawulire gwonna.
Kivudde ku babiri bano okunaaba ensonyi Ku maaso nebatandika okwasanguza ensonga zabwe ez’ekyama nebatuuka ne mu by’omukisenge nga bali mu mukwano, n’okwogera ensonga z’obulamu bwabwe ku bantu abalala bebayagalako nga babinyumya mu mikutu gy’amawulire.
Kino nno kitanudde abamu Ku babalaba,nababawulira okwenyiwa emboozi zabwe ezirabika nga zitumbula obuseegu, okutwala okwemulugunya kwabwe eri ekibanja eky’omutimbagano ekiyitibwa Change.org. Eno y’enkola ey’omutimbagano eyabangibwawo okukola ku nsonga zaabo bonna ababeera n’okwemulugunya eri abantu abenjawulo n’ensonga ezitali zimu.
Dexter Morales ng’ono yeyatandika okwemulugunya kuno,aluubirirae okufuna emikono gyabantu abamusemba ku nsonga za Jada ne Will Smith egiwera 2500, naye nga mu kaseera kano yakafuna emikono egiri eyo mu 2000.
Singa afuna emikono gyeyetaaga,Smith ne Jada sibakuddamu kulabikira Ku mikutu gya mawulire ku nsonga ezibakwatako bombi.
Ababiri bano bafumbiriganwa mu 1997 era nga balina abaana babiri okuli omulenzi nga ye Jaden smith n’omuwala nga ye Willow Smith.Omukyala Jada smith ng’ono addukanya program Ku mukutu ogwa facebook emanyiddwa nga Red Table Talk,kitaawe okwagala okwenyigira munsonga z’omukwano naye, alunyumya nga lutabaalo era agamba nti kyamuleetera obukaawu bungi nnyo.
Jada Smith mu kaseera kano atemera mugy’obukulu 50,so nga ye bba Will Smith kati atemera mu gy’obukulu 53.Kyokka ekyewunyisa,bombi betabako mu bikolwa eby’obwenzi ate nga bafumbo.