Ttiimu z’ebika by’abaganda zeraze eryanyi, era nga bazzukulu ba Kalibbala e Nsiisi bebasinze okuteeba goolo ennyingi mu mipiira ejizannyiddwa leero nga 12 May,2024, Enseenene ekubye Amazzi g’Ekisasi goolo 6 – 1.
Omutendera guno gubaddemu ttiimu 16, wabula kuzannyeeko 15 zokka, bazzukulu ba Muteesaasira ab’Engo tebalabiseeko babadde bakuzannya ne Nyange.
Mu mipiira emirala;
Nvuma 3 -1 Nakinsige
Kasimba 0 – 1 Njovu
Butiiko 0 -1 Omutima Omusagi
Mmamba Kakoboza 0 – 1 Omutima Omuyanja
Ngabi Nsamba 0 -1 Ndiga
Mbwa 4 – 3 Nnyonyi Ndisa
Mpindi 4 – 0 Nvubu
Mbogo 1 – 0 Kinyomo
Mazzi g’ekisasi 1 – 6 Nsenene
Ngabi Nnyunga 0 -1 Nte
Njaza 0 – 0 Kkobe
Ffumbe 0 -1 Nkima
Mmamba Namakaka 1- 2 Lugave
Ngoonge 1- 0 Musu
Ntalaganya 0 – 4 Ngeye
Minister wébyemizannyo abavubuka n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga bwabadde yetabye ku mipiira gyébika egizanyidwa ku kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso, yebaziza Bajjajja Abataka olwómulimu amakula gwebakoze eri ttiimu zébika mu kuziteekateeka, ate nókuwa abazannyi abato omwaganya okuzannyira ebika byabwe.#
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe