Ng’amasaza ga Buganda getegekera empaka z’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno, essaza Kyaggwe lirangiridde William Kyeswa nga omutendesi wabwe omugya.
William Kyeswa adda mu bigere bya Felix Ssekabuuza eyabatendeka mu mpaka z’omwaka oguwedde.
Kyeswa yatendekako club ya Gaddafi eya Uganda Premier League ne Free Stars eya Buganda Region.
Ku mulimu guno omuggya ogw’okutendeka tiimu y’essaza Kyaggwe agenda kukola nabamyukabe, okuli Hassan Zzungu ne Gerald Efiti ne John Billy omutendesi wa bakwasi ba goolo.
Kyaggwe mu mpaka za masaza ez’omwaka guno yateereddwa mu kibinja C omuli ne Bulemeezi, Busiro, Ssese, Bugerere ne Busujju.
Kyaggwe tewangulangako ku mpaka zino era omwaka oguwedde yakoma ku mutendera gwa ‘quarterfinals’.
Empaka za masaza ez’omwaka guno ziggulwawo nga 25 omwezi ogujja ogwa June mu ssaza Buddu.