Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA kikakasiza nti enteekateeka zonna ziwedde eza ttabamiruka w’ekibiina ow’omulundi ogwe 99 ow’omwaka guno 2023, agenda okutuula nga 6 ne 7 omwezi gwa October,2023 mu kibuga Moroto.
Akulira ebyemirimu mu FUFA, Edgar Watson, agambye nti ebintu bingi ebigenda okuteesebwako mu ttabamiruka ono omuli embalirira ey’omwaka ogujja 2024, n’okukakasa emirimu egikolebwa n’egyo egisuubirwa okukolebwa.
Mungeri FUFA yakwogera ku buwanguzi Uganda bweyatuseeko obw’okutegeka empaka za AFCON 2027 nga ekolagana ne bamulirwana baayo Kenya ne Tanzania.
Mungeri etali yabulijjo, ttabamiruka w’omwaka guno egenda kubeera wa nnaku 2 okuva ku lunaku lumu nga bweguzze guba, nga kino kyasalibwawo olukiiko lwa FUFA olw’okuntiko olw’omulundi ogwa 28.
Olunaku olunasooka nga 06/10, lujja kubeera lwa kuteesa ku mupiira gwokka, ate enkeera nga 07/10 abakiise bakuteesa ku bukulembeze n’ebyensimbi mu mupiira.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe