Ttabamiruka wa CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeteerekera Sacco Ltd owa 2023 atuuziddwa n’omulanga eri ba Memba okwongera ku bungi bw’emigabo gyabwe ,nabuli muntu okukola obuvunanyizibwabwe okwekulakulanya .
Obubaka buno bubaweereddwa minister w’abakyala ,Bulunjibwansi ,Obutondebwensi n’amazzi Owek Mariam Mayanja Nkalubo abadde omugenyi omukulu.
Omukolo gubadde ku Mengo Teachers Hall.
Minister Nkalubo agamba nti SACCO zonna zikulakulana lwa ba Memba kugula migabo,era asabye buli muntu okutuukiriza obuvunanyizibwa bwalina okutwala Eyeeterekera mu maaso.
Ssenkulu wa Radio CBS Omukungu Michael Kawooya Mwebe asinzidde mu Taabamiruka agambye nti Radio Ya Kabaka CBS yenyumiriza mu SACCO eno gyeyatandikawo n’ekigenererwa eky’okukyusa embeera z’abantu n’okubakulakulanya, era bangi ebaganyudde.
Sentumbwe Daniel Herbert Ssenkulu wa CBS PEWOSA Nsindikanjake Eyeteerekera Sacco Ltd agamba nti omwaka gw’e byensimbi 2024 bagala batuuke mu bitundu eby’ebizinga byonna okwetoloola Buganda .
Wabula agambye nti wabaddewo okusoomozebwa okwa ba Memba obutasasula mabanja mu budde, era abasabye okutwala obuvunanyizibwa okususula amabanja, basobole sente okuziwa abantu abalala okwekulakulanya.
CBS PEWOSA Nsindiknjake Eyeeterekera Sacco Ltd mu kiseera kino erina bamemba emitwalo 250,000.
Omwaka oguyise 2023 baayingizza bamemba abapya 4000 ne Groups empya 3000, nga buli group erimu ba memba 30.
Mungeri yeemu agambye omwaka guno 2024 essira bagenda kuliteeka ku kubangula bamemba ku nkozesa ya Ssente wamu n’okusasanya empereza zabwe mu bitundu ebirala gyebatanatuuka nga bakozesa enkola eye mitimbagano.
Mu Ttabamiruka ono, eyakulemberamu akakiiko akasunsula abakulembeze mu CBS PEWOSA Eyeeterekera Sacco Omumbejja Aisha Nakalema Kabejja ayanjudde Alipoota eyava mu kakiiko.
Rashid Musisi Ssemanda ye Ssentebe, Ssebastian Mulindwa Ggaliwango Christopher ye muwanika, Ssebadduka Micheal Mboowa muwandiisi, Ssekiryowa Johnson memba, Luganda Daudi Nsiyonna memba ne Nambi Josephine memba, Lutaakome Fredrik Musisi, Florence Luwedde n’Owek.Vincent Bbaale Mugera abakiise b’Obwakabaka bwa Buganda
Abadde Ssentebe wa Cbs PEWOSA Nsindika Njake Eyeeterekera Owek Vincent Bbaale Mugera asabye abamudidde mubigere okubera abamalirivu era abesimbu.
Ku lwa Government eya wakati, Omukungu okuva mu ministry y’ebyobusuubuzi n’obwegassi Mpakibi Waisswa agamba nti benyumiriza mu mirimu ejikolebwa Cbs PEWOSA Eyeeterekera olwokutumbula embeera z’abantu naddala abasuubuzi era yeyanzizza Ssabasajja Kabaka olw’enteekateeka zino.
Bisakiddwa: Nakato Janefer