Club ya Tooro United esaliddwako okuva mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League néddayo mu liigi yékibinja ekyókubiri ekya FUFA Big League bwékubiddwa club ya UPDF goolo 1-0 olwaleero mu kisaawe e Bombo.
Tooro United esembye mu liigi nóbubonero 10 okuva mu mipiira 26, era nga emipiira 4 egisigaddeyo egenda kusamba kutuusa luwalo.
Emipiira emirala egizanyidwa olwaleero mu liigi eno, Villa Jogo ekubye Mbarara City goolo 2-1 mu kisaawe e Njeru.
Arua Hill ekubye Busoga United goolo 2-0 mu Arua.
Ebyo nga biri bityo, empaka za masomero ga senior ezómupiira ogwébigere eza National Post Primary Championships zitandise olwaleero ku ssomero lya Mvara SS mu Arua era amasomero mangi gatandise nabuwanguzi.
Old Kampala SS ekubye St James SS goolo 1-0.
Abategesi aba Mvara bakubye Amugu SS goolo 2-0.
Kibuli SS eremaganye ne West Ville goolo 1-1.
Royal Giants Mityana ekubye Gulu High goolo 2-0.
St Mary’s Kitende eremaganye ne Ikiki SS goolo 1-1.
Dynamic SS ekubye Lake Side Masese goolo 3-0.
St Andrews Kaggwa Gombe ekubye God’s Hope goolo 2-0.
Bugangali ekubye Mpigi Mixed goolo 1-0 némizannyo emirala.
Ate mu mpaka za University Football League, Kampala University ekubye Ndejje University goolo 2-1 ku kisaawe e Kibuli.
Empaka za university zakudamu ku lwókuna lwa wiiki eno, Bugema University ng’ettunka ne IUIU.