Bya Issah Kimbugwe
Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde tiimu eyawamu erondeddwa okuva mu mpaka z’amasaza ezómwaka oguwedde, okuzannya omupiira ogwómukwano ne ttiimu yéggwanga eya Uganda Cranes.
Minister wébyemizannyo abavubuka nókwewummuza mu bwakabaka Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, y’alangiridde enteekateeka eno mu lukiiko lwa banamawulire olutudde olwaleero mu Bulange e Mengo.
Omupiira guno gugenda kuzanyibwa nga 15 April,2022 lwe lwókutaano wiiki eno, mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Owek Ssekabembe agambye nti bakolaganye ne FUFA, okuteekateeka omupiira guno nékigendererwa ekyókwongera okusitula ebitone by’abazannyi abali mu mpaka za masaza ga Buganda.
Tiimu evudde mu mpaka z’a masaza y’abazannyi 25.
Buddu yesinzako abazannyi abangi bali 9.
-Mu makati mulimu;
Mike Abura we Buweekula
Hakim Mutebi we Busiro
Isma Rmatala we Buddu
Sulaiman Ssesaazi we Bulemeezi
Fahd Nsamba Buddu
Isaac Musiima Buweekula
-Abazibizi ye;
Abdallah Ssentongo we Buddu
Arnold Ogongo we Mawokota
Angello Kizza we Mawokota
Bernard Alijuna we Buweekula
Mike Kintu we Mawokota
Gideon Odongo we Buddu
Harunah Lukwago we Buddu
Keneth Sekolya we Bugerere
Godfrey Anjole we Bulemeezi
Jonathan Oluka we Buddu
-Olugoba oluteebi mulimu;
Sharif Ssengendo we Buddu
Isaac Oyirwoth we Mawokota
John Ben Nakibinge we Bulemeezi
Denis Kalanzi we Kyaggwe
Bruno Bunyaga we Buddu
Isaac Oyirwoth we Mawokota
Akram Muzanyi we Bulemeezi
Omutendesi wa ttiimu eno ye Richard Malinga owa Mawokota nga amyukibwa Mulindwa Frank owa Buwekula.
Manager wa tiimu ye Kiwanuka Sulaiman.