Munamateeka Owek Peter Muliira, eyaliko Minista wa Buganda ow’Amasiro avudde mu bulamu bw’ensi.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atenderezza Owek. Peter Mulira olw’obuvumu bwabadde ayolesa mu buweereza.
Agambye nti Muliira abadde muntu eyebuuzibwako, Omunoonyereza era awandiika ku nsonga ez’enjawulo.
Owek Peter Mulira yazaalibwa abagenzi Eldard ne Rebecca Muliira.
Rebecca Muliira yali muwala wa Ssekiboobo Ham Mukasa, era yali muganda wa Victoria Nalwanga, eyazaala Namasole Sarah Nalule, nnyina wa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.#










