Bya Issah Kimbugwe
Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gwa Rugby eyabakazi eya Lady Cranes Sevens egenze Tunisia okwetaba mu mpaka za Africa Women’s Sevens, ezigenda okubeerawo okuva nga 29 ne 30 omwezi guno April 2022.
Ttiimu eno egenze n’abazannyi 12 okuli Juliet Nandawula, Rita Nadunga, Angel Nanyonjo, Yvonne Najjuma, Faith Namugga, Agnes Nakuya, Grace Auma, Suzan Adong nabalala.
BakulembeDdwamu omutendesi Charles Onen.
Amawanga 9 gegagenda okuvuganya mu mpaka zino.
Uganda eri mu kibinja B ne Kenya ne Zambia.
Mu kibinja A mulimu South Africa, Senegal ne Zimbabwe.
Ekibinja C mulimu Tunisia, Madagascar ne Ghana.
Amawanga gano gonna galwana kukiika mu mpaka za Rugby Women World Cup n’empaka za Commonwealth Games.
Wabula yo South Africa yayitamu dda okukiika mu mpaka za Rugby Women World Cup.
Uganda yakatuuka ku luzannya olwakamalirizo olwa Africa Women’s Sevens emirundi 2.
Mu 2008 yawangula ekikopo yakuba South Africa n’obugoba 24 – 00.
Ate mu 2018 Kenya yakuba Uganda obugoba 29 – 07 e Gaborone.
Wabula mu mpaka ezasembayo mu 2019 e Tunisia Uganda yakwata ekifo kya 5.
Uganda erwana okuddamu okukiika mu mpaka z’ensi yonna eza Rugby Women’s World Cup omulundi ogw’okubiri, okuva lwe yasemba okuzetabamu 2009 ezaali e New Zealand ne Australia.
Tiimu yábasajja eya Uganda Rugby Sevens yawangudde ekikopo kya Africa ekya 2022 ekyayindidde e Lugogo mu Kampala, neyitawo okwesogga ekyensi yonna ekinabeera e South Africa.