Bya Issah Kimbugwe
Club ya Kivovu egucangira mu liigi ya babinywera mu Rwanda eyagala kutwala abazannyi bannauganda 2 okuli Milton Kariisa ne Saide Kyeyune.
Enteseganya zotandise.
Milton Kariisa muzannyi wa club ya Vipers ate Saide Kyeyune muzannyi wa URA.
Abazannyi bombiriri mu kiseera kino endagaano zabwe ne club gyebali kati zisigaddeko ebbanga ttono okugwako.
Bano singa begatta ku club eno, bajja kuba bagasse ku bannauganda abalala abali mu club eno eya Kivovu mu Rwanda, kuli Emmanuel Okwi ne Muzamiru Mutyaba.
Milton Kariisa yaddamu okwegatta ku Vipers mu February wa 2020 nga ava e Morocco.
Ye Saidi Kyeyune yali yasambirako ku URA emabega, kati abadde yakaddamu okujegattako mu season eno nga ava mu El Merreikh eya Sudan.