Amyuka sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa mu butongole atandise emirimu gye ng’omumyuka wa sipiika, era yakubiriza olutuula lwa parliament olusookedde ddala okuva lweyalondebwa wiiki ewedde kulwokutaano.
Tayebwa yazze mu kifo kya Anita Among eyalondeddwa n’asuumuusibwa ku kifo kya sipiika,ng’adda mu bigere bya Jacob Oulanyah eyafudde.
Mu bubaka bwe eri ababaka obusookedde ddala ng’akubiriza parliament, Tayebwa asabye ababaka nti mu kiseera kino nga parliament ekungubaga, tegenda kubeera nabudde bungi.
Abasabye okwanjula ebizibu ebiruma abalonzi mu bitundu byebakiikirira eri sipiika oba omumyuka balabe bwebigonjoolwa nti kubanga entuula zigenda kubeera ntono ddala .
Thomas Tayebwa alagidde minister w’ebyensimbi nti ku lwokuna lwa wiiki eno, ayanjule mu parliament embalirira y’eggwanga ey’omwaka gweby’ensimbi 2022/2023, nga bwegenda okugabanyizibwa mu bitundu by’eggwanga.
Tayebwa era alagidde goverment okukozesa olutuula olwo,okwanjulira parliament ennongosereza mu mateeka agafuga emisolo, kisobozese obukiiko bwa parliament okugeetegereza mu budde obutono obusigaddeyo.
Mu lutuula luno era government esabye parliament eyise ennyongereza y’embalirira ya shs kawumbi 1.8b, ezinaasaasanyizibwa mu nteekateeka y’okuziika abadde sipiika Jacob Oulanyah.