Abantu babiri bafiiriddewo mbulaga taxi No. UAJ 909T eremeredde omugoba waayo n’ebasaabala ku nkulungo y’eBuwooya ku luguudo lwa Kyetume-Katosi mu district ye Buikwe.
Mmotoka eno kigambibwa nti ebadde etisse kabindo, era olumaze okukoona ababadde batambula ebyabwe nebatta, yerindiggudde ekigwo era abantu abagibaddemu waliwo abaddusiddwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi ddala.
Eyerabiddeko n’agage Isaac Walugembe ategezezza nti abantu ababaddemu babadde bava ku kyalo Kalambya -Kiringo mu gombolola y’eNgogwe nga bagenda kuziika ku kyalo Kakunyu e Kiyindi.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis