Omulabirizi w’obulabirizi bwa Ankole Dr. Sheldon Fredrick Mwesigwa asabye abantu obutaseeseetuka ku Katonda olw’ebizibu ebyenjawulo byebasanga mu bulamu wabula bongere ku mwekwataako okusobola okubivunuka obulungi.
Omulabirizi Sheldon Fredrick Mwesigwa abyogeredde mu kusaba k’okwebaza katonda olwa taata w’akulira akakiiko akavunanyizibwa ku bamusiga ensiimbi mu State House Afande Col Edith Nakalema, nga ye Rev Deacon Eliasaph Sserwadda olw’okuweza emyaka egisoba mu 50 ng’Omubuulizi w’enjiri ate n’okufuuka Omwawule.
Emikolo gibadde ku kanisa ya All Saints Kanyeganyegye mu district ye Mbarara.
Omulabirizi wa Central Buganda Rev Bishop Micheal Lubowa nga teyatikidde Rev.Eliasaph Sserwadda Obwawule, asinzidde mu kusaba kuno n’asabira ab’oluganda lw’abantu abaafiiriddwa ababwe mu bulumbaganyi obwakoleddwa ku bayizi b’essomero lya Mpondwe Lhubiriha SS mu district ye Kasese.
Omulabirizi wa North Kigezi Onesmas Asiimwe yebazizza Rev Deacon Eliasaph Sserwadda okwewaayo n’asoma nafuna obwawule ku myaka gyaliko nasaba abavubuka abato okumulabirako.
Akulira akakiiko ka State House aka Investors protectorate unit Col.Edith Nakalema ku lwa family ya Rev Deacon Eliasaph Sserwadda agambye nti osanga singa teyali kanisa ya Uganda ng’abaana tebandisobodde kusoma, n’agyebaza olwokubabeererawo.
Omujaguza Rev Deacon Eliasaph Sserwadda amaze emyaka egisuka mu 50 nga mu buulirizi wa njiri, era yebazizza abantu bonna abamubeereddewo bagambye nti katonda beyayitamu okumusobizesa okutuka ku kkula lino.
Omukolo gwetabiddwako ssabalamuzi wa Uganda , eyawumula Bahata Katurebe,akulira ekitongole ky’enguudo ki UNRA Allen Kagina, senkulu wa URA ,John Musinguzi, Maj Gen Sabiiti Muzeeyi,bannaddini mu biti ebyenjawulo,abakungu mu government n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru