Police ye Iganga ekutte omusajja Peter Idoobe ku bigambobwa nti atuguumbudde omwanawe, oluvannyuma lwokufuna obutakaanya ne mukyalawe Natukunda Monica.
Bino bibadde ku kyalo Buliigo mu Iganga central division.
Omugenzi ye Nambuya Mariam ow’emyezi omwenda.
Omwogezi wa police mu Busoga East Sp Nandaula Diana agambye nti Idoobe akyakuumibwa ku police ye Iganga.