Banna byamizannyo abegattira mu kibiina kya Real Stars Sports Agency, balonze omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’okubaka eya She Cranes ne club NIC, Stella Oyella, nga omuzannyi asinze banne okubaka omwezi oguwedde ogwa May 2022.
Stella Oyella amezze banne okubadde Achan Jessica owa club ya Prison ne Shaffie Nalwanja owa club ya KCCA.
Oyella okutuuka kubuwanguzi buno yasobozesa club ya National Insurance Company okuwangula ekikopo kya East Africa Netball Chanpionship.
Oyela era yeyasinga okuteeba goolo ennyingi mu mpaka ezo.
Mu muzannyo gw’omupiira asinze banne ye Fazila Ikwaput owa club ya Lady Doves ne ttiimu y’eggwanga eya Crested Cranes.
Ikwaput amezze banne okubadde Hasifah Nasuuna owa UCU Lady Cardinals ne Bobosi Byaruhanga owa club ya Vipers.
Mu muzannyo gwa Cricket Janet Mbabazi owa Victoria Pearls yawangudde.
Omuzannyo gw’emisinde Victor Cherotch yawangudde.
Mu muzannyo gw’ensero James Okello y’amezze banne.
Abawanguzi bonna baweereddwa engule n’ensimbi ku mukolo ogubadde e Lugogo mu Kampala.