Abakulembeze n’abakozi b’ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya KCCA batuula bufoofofo, oluvanyuma lw’akakiiko akavunaanyizibwa ku kulwanyisa obulyake n’obukenuzi mu maka g’obwa president aka State House Anti-Corruption Unit okutandika okunoonyereza ku vvulugu agambibwa nti ajjudde mu KCCA.
Ensonda zitegeezezza CBS nti Anti-Corruption Unit ebimu ku byenoonyerezaako mu kitongole kino mwemuli enkungaanya ya kasasiro, ensimbi z’abakozi abeera enguddo, tenda ne contracts engeri gyezigabwamu mu kitongole kino n’ensonga endala eziweerako.
Emmanduso y’okunoonyereza kuno yavudde ku njega eyagudde e Kiteezi ewayiibwa kasasiro ava mu Kampala, bweyagwiiridde ennyumba z’abatuuze, n’atta n’abantu abasoba mu 22.
Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda agambye nti okunoonyereza okugenda mu maaso akwaniriza kubanga obulyake bubadde busensedde ekitongole kya KCCA, nga kibadde kitattanye emirimu mingi.#