Stanley Kisambira Dereeva mu ssiga eddamuzi agambibwa okufulumya akatambi nga yemulugunya kukusasulwa obusente obutono, ekitongole ekiramuzi kisazeewo okumuyimiriza ku mulimu n’assibwako obukwakkulizo.
Kisambira abadde yakayimbulwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 10 ezitali A buliwo, oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okwogera ebigambo ebisiga obukyayi eri abalamuzi wabula nagwegaana.
Mu biragiro ebifulumiziddwa omuteesiteesi omukulu mu kitongole ekiramuzi Pius Bigirimana, Kisambira alagiddwa okuwaayo bunnambiro wofiisi ye ate n’obutaddamu kulabikako mu kkooti yonna mu ggwanga, nga tasoose kufuna lukusa okuva ewa Bigirimana.
Bigirimana era alagidde Kisambira okusula kitundu ku musaala gw’abadde afuna buli mwezi, okutuusa ng’emisango egyamugguddwako giwedde.
Kisambira era alagiddwa obutafuluma ggwanga nga tasoose kufuna lukusa okuva ewa Bigirimana.
Ensonga ezaazaalira Kisambira akabasa kigambibwa nga 12th may,2023, yakwata eddoboozi ku katambi nga yemulugunya ku busente obutono obwemitwalo 237,000 obusasulwa abavuga abalamuzi kyokka nga bbo basasulwa omusimbi muyitirivu, era akatambi Kano nekasasaanira emikutu gi mugattabantu.
Yawa eky’okulabirako nti embeera ey’okusalwa obusente obutono bweyinza okumuviirako okutomeza emmotoka nga mulimu omulamuzi n’omukuumi we bonna nebafiiramu.
Wabula ekitongole ekiramuzi kyategeeza nti Kisambira alimba asasulwa omusaala gwa kakadde ka shs kalamba 1.3M, nga nolwekyo akatambi yakakola kuwuddiisa ggwanga saako n’okuswaza ekitongole ekiramuzi, n’okusiga obukyayi.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam