
Bya Issah Kimbugwe
Essomero lya St Mary’s Kitende yeddiza ekikopo ky’empaka za masomero ga senior ezómupiira ogwébigere eza National Post Primary Championships 2022.
St.Mary’s Kitende ekubye essomero lya St Andrews Kaggwa Gombe goolo 2 – 0.
Empaka zino zibadde ziyindira mu kubiga kye Arua.
St Mary’s Kitende yakawangula empaka zino omulundi ogwe 10.
Kibadde kyakoma okuzannyibwa mu 2019 mu mpaka ezaali e Jinja, St.Mary’s Kitende yeyakiwangula.
Amasomero 64 gegavuganyizza mu mpaka zino ezizanyidwa ku ssomero lya Mvara SS.
Kibuli SS ekutte ekifo kyakusatu ekubye Buddo SS goolo 3 – 0.
Amasomero okuli St Mary’s Kitende, St Andrews Kaggwa Gombe, Kibuli SS ne Buddo SS gayiseewo buterevu okukiikirira Uganda mu mpaka za East Africa Secondary Schools Championship.
Empaza za East Africa zigenda kubeera Tanzania mu mwaka guno.
Kibuli SS yekyasinza ebikopo by’e mpaka za National Post Primary Championships biri 11.
Omuzannyi Oscar Mawa owa St Andrews Kaggwa Gombe era omuzannyi wa Villa Jogo Salongo yasinze okuteeba goolo ennyingi mu mpaka zino zibadde 11.
Ismael Ndifuna owa Mukono SS akutte kyakubiri ne goolo 9.