Ababaka ba Parliament Allan Sewanyana ne Mohammed Ssegirinya tebalabiseeko mu kkooti enkulu ewuliriza emisango gyaba kalintalo e Kololo, gyebabadde basuubirwa okwongera okwekenneenya obujulizi mu misango gy’obutemu n’ebutujju egibavunaanibwa.
Munnamateeka waabwe Samuel Muyizzi Mulindwa ategeezezza kkooti enkulu nti ababaka balwadde bali mu ddwaliro era naleeta n’ebbaluwa z’eddwaliro okukakasa byayogerako.
Oludda oluwaabi lukkiriziganyiza ne Bannamateeka b’ababaka era omulamuzi wa kkooti eno Alice Komuhangi Khauka kwe kwongezaayo omusango guno okutuusa nga 6th omwezi ogujja.
Sabiiti ewedde, Ababaka bano bayimbulwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 20 buli omu ez’obuliwo oluvannyuma lwokukulungula emyezi 17 mu kabulamuliro, era bano b’avaayo ngembeera yaabwe eyobulamu tesanyusa.
Ababaka Segirinya ne Sewanyana bavunaanibwa emisango gyobutujju, obutemu nokugezaako okutta abantu nga Gavumenti ebalumiriza okuteeka ensimbi mu Bijambiya ebyatigomya Masaka ne Lwengo omwaka oguwedde abantu abasukka 20 gyebalusuuliramu akaba saako okulumya abawerako.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam