Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Simon Mugenyi Byabakama ne ba commissioner byokulonda balekulidde wofiisi zabwe, oluvanyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwawo.
President Museveni yalonda omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama ne ba commissioner 7 okukulembera akakiiko k’ebyokulonda nga 07 January, 2017, ku kisanja kya myaka 7.
Simon Byabakama mukwogerako ne CBS agambye nti emirimu bagirekedde abakozi b’akakiiko abasoba mu 800, bagire nga bagiddukanya okutuusa omukulembeze w’eggwanga bwanasalawo ekiddako.
Simon Mugenyi Byabakama agamba nti mumativu nti ekisanja kyabaddewo akakoze omulimu omulungi era amanyi nti bannauganda basakyufu n’obuweereza bwe, wadde nga waliwo abatonotono abatasiima.
Mungeri yemu agambye nti singa ekisanja kye tekizibwa bujja wakulangirira ekiddako omuli n’okuddayo musiga eddamuzi okuddamu okuweerereza eyo.
Omulamuzi Byabakama president Museven yamulonda mubmwaka 2016 okudda mu bigere bya Badimru Kiguddu.#