Kkooti ento eya City Hall mu Kampala eyimbudde ssentebe wákakiiko kéttaka aka Kampala Land Board Munnamateeka David Balondemu ku kakalu kaayo awoze ng’ava waka emisango gyokwekobaana ne banne abalala 3 okufuna ensimbi mu lukujjukujju.
Balondemu ayimbuddwa ne munnamateeka munne Geofrey Mkwe ku kakalu ka bukadde bwa shs 20 buli omu nga zaabuliwo, n’ababeyimiridde okulagibwa okusasula obukadde bwa shs 200 buli omu singa bebeyimiridde bagaana okudda mu kkooti.
Balondemu kigambibwa yekobaana ne Mkwe nabalala 2 wakati wa March ne November 2021, ne baggya ensimbi ezisukka mu buwumbi 2 okuva ku musigansimbi omu Korea Hyun Un Kim nga bamusuubizza okumuguza zzaabu.
Omulamuzi wa kkooti ya City Hall mu Kampala Edgar Karakire ayimbudde Bannamateeka bano bwakizudde nti abantu bebadde baleese okweyimirirwa basaanidde, kyokka Bannaabwe abalala 2 bazziddwayo e Luzira okutuusa nga 13th November,2023 olwabantu bebaaleese okubeyimira okuba nga tebayina bisanyizo bisaanidde.
Balondemu ne munne balagiddwa okuwaayo passport zabwe eri kkooti, era tebalina kufuluma ggwanga nga tebasoose kufuna lukusa okuva eri kkooti, ate era balabuddwa okwewala okugootanya okunonyereza mu musango ogubavunaanwa.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam