Ssentebe wa District ye Hoima Kaduli Kalungi Afiiridde mukabenje akagudde ku kyalo Temanakali mu Town council ye Bukomero ku luguudo oluva e Hoima okudda e Kampala.
Ssentebe abadde atambulira mu Mmotoka Kika Kya Prado TX no UAH 053, abadde ava Hoima ngadda Kampala.
Mmotoka ye eyambalaganye ne mmotoka endala ebadde etisse bbulooka ebadde eva ku ludda lw’eKampala ng’edda Hoima.
Eyaliko Kansala w’e Kikandwa Ssebuufu Henry omu ku badduukirize agambye nti n’omukuumi wa ssentebe ategerekeserko erya Otim naye agiddwa mu mmotoka ng’afudde.#