Ssentebe we kyalo Mbaale mu Kagologolo town council mu district ye Bukomansimbi Kibirango Ssabiiti asangiddwa attiddwa omulambo negusuulibwa mu mimwanyi.
Alex Ssewagudde ssentebe wa Kagologolo town council agamba nti Kibirango yabadde agenda okusiibulukuka akawungeezi bwatyo n’asooka asimba pikipiki ye mu ka tawuni ke Kagologolo era n’agula n’ekindaazi eky’okusiibulukukirako.
Yabadde yakakigula newabaawo amukubira essimu n’agenda ng’ajogererako n’ekindaazi kye mu ngalo, wabula tebazeemu kumulaba.
Weyalese pikipiki bakaanze kulinda nga tebamulaba, nebakuba essimu ye ekiro kyonna nga tagikwata, okutuusa lweyasirise n’ebeera nga tekyavuga.
Pikipiki esuzeewo okutuusa webukedde omuyiggo negutandika, basanze yakubiddwa naafa era nga yadigadde bukunya, n’ekindaazi kyeyabadde agenda okusiibulukukirako kisangiddwawo.
Kibirango abadde mulimi ow’amaanyi era nga muwozi wa nsimbi.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior