Abaweereza ku Radio Cbs nga bannamawulire era bannabitone Ssendegeya Muhammad Byayi ne Muna Buddu Lukenge Sharif batongozezza Video yabwe esoose gyebatuumye NDYAZANGE.
Omukolo gubadde ku Kenlon hotel e Mengo.
Oluyimba luno olwa Ndyazange luwa essuubi eri abantu abalala naddala abavubuka okwekkiririzaamu, okutwala mu maaso ebirooto byabwe wakati mu kusoomozebwa,bwebabituukako era tebasaanye kweryazaamanya bafuneyo akadde okwesiima n’okulya ku nsimbi zabwe.
Rtd Col Dr Kizza Besigye era eyaliko president wa FDC yoomu ku yetabye ku Kivulu kino .
Dr Kizza Besigye ajjukizza banabitone okufaayo okiyiiya ebintu ebibakulakulanya ng’abantu ate nga bikulakulanya n’eggwanga.
Besigye era asabye bana Uganda okulwanirira okuleetawo enkyukakyuka mu ggwanga.
Hellen Namugga Omubaka Omukyala owa District ye ssembabule alabudde abayimbi okukomya okufulumya ennyimba ezivoola wabula bettanire ezo ezisomesa banna Uganda.
Omuwabuzi w’omukulembeeze we ggwanga ku Nsonga zeby’obufuzi Katushabe Ruth asinzidde mu Kivulu kino nategezeza nti Gavumenti yakwongera okuwagira abavubuka abalina ebitone okulwanyisa ebbula ly’emirimu.
Omubaka Omukyala owa Kampala Shamim Malende ategezeza nti Uganda bwebera ya kugenda mumaaso abavubuka basaanye okubeera ku mwanjo mu buli nsonga.
Muyiga Faisal Kisiki okuva mu Faiz Construction and Real estate Developers abayimbi bano abawadde ekyapa kya poloti y’ettaka batandikireko okwekulaakulanya.
Omubaka Omukyala owa District ye Mpigi Teddy Nambooze yeyanzizannyo Ssabasajja olwokusiima natandikawo Cbs eyambye abavubuka okukola n’okuyiiya.
Kulwa Cbs Hajji Abu Kawenja asabye Lukenge Sharif ne Ssendegeya Muhammad okwongera okuweesa Radio Cbs ekitiibwa mu byonna byebakola.
Abakozi ba CBS nga bakulembeddwamu akola ku nsonga z’abakozi Joan Nabagesera , saako n’abakozi ba BBS Terefayina babaddewo mu bungi okuwagira bakozi bannabwe.
Lukenge Sharif ne Ssendegeya Muhammad Wakati m Sannyu babezizza nnyo bakama baabwe ababatwala ku Cbs olwokubawa omukisa okuweereza ekibayambye okuzuula ekitone kyabwe.
Omukolo guno gwetabidwaako bana byabufuzi, banamuwulire , abasuubuzi n’abantu abalala bangi ababaddewo okubawagira.
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius