Wofiisi ya ssaabawaabi w’emisango gya government ebuulidde parliament nti emisango egivunaanibwa abawagizi ba NUP abasoba mu 100 , abaakwatibwa e Kalangala mu January 2021 tegimanyiiko, era temanyi ngeri gyebatwalibwamu kuvunaanibwa mu kooti yámagye.
Abawagizi ba NUP okwali Nubian Li, Eddie Ssebuufu amanyiddwanga Eddie Mutwe n’abalala abawera 100, baakwatibwa amaggye nga 4 January, 2021, Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyali agenze e Kalangala okunoonya akalulu kobwa President.
Baasimbibwa mu kkooti y’amaggye e Makindye nebaggulibwako emisango gyokusangibwa n’ebyokulwanyisa, okwali amasasi, ne ‘magazine’ omubeera amasasi.
John Baptist Asiimwe omumyuka wa ssaabawaabi w’emisango gya government asinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola eddembe ly’obuntu, akanoonyereza ku bikolwa ebyókulinnyirira eddembe lyobuntu ebyatuusibwa ku bannansi wakati w’omwaka 2020 ne 2022.
Asiimwe agambye nti abawagizi ba NUP abasoba mu 100 bwebaakwatibwa, wofiisi ya DPP yabaggulako emisango gyakweyisa mu ngeri eyinza okuvaako ekirwadde kya COVID 19 okusaasaana, wabula engeri emisango gino gyegyakyukamu ate nebaggulwako gyákusangibwa na byakulwanyisa bbo tebaabimanyako era tebasobola kubinyonyola.
Wabula ssentebe w’akakiiko ka parliament akalondoola eddembe lyobuntu Fox Odoi, abuulidde ssaabawaabi w’emisango gya government nti enkola yabwe eyékiboggwe yevuddeko vvulugu owéngeri eno.
Ababaka abalala okubadde Francis Zaake Butebi owa Mityana Municipality, Flavia Kalule Nabagabe omubaka omukyala owa district ye Kassanda nomubaka wa Kanyum County simon Peter Opolot Okwalinga boogedde kaati, nti emisango gyebaggula ku bawagizi ba NUP bano gyali mifumbirire.
Banenyezza woffiisi ya DPP ne kkooti y’amagye okukkiriza okukozesebwa nebanyigiriza bannansi, nga babaggulako emisango emifumbirire.
Abawagizi ba NUP abogerwako, baasimbibwa mu kkooti y’amagye, abamu nebayimbulwa ku kakalu ka kkooti ate abamu bakyaliyo n’okutuusa kati.
Kinajjukirwa nti ekiwandiiko ekitongole ekyava mu kkooti yámagye ekirambika emisango egibavunaanibwa, nékiseera webaagiddiza, baali baamala dda okukwatibwa era nga baali mu mukino gyámagye.
Mu ngeri yeemu Ssaabawaabi w’emisango gya government agamba nti essiga eddamuzi lyeririna okunenyezebwa, olw’okulwawo okuwulira emisango egikandaaliridde mu kkooti.