Eyali omubaka wa paapa Dr.Augustine Kasujja ajaguzza n’okwebaza Katonda okumuweereza ng’omusaseredooti era omwepisikoopi okumala emyaka 50 miramba.
Emikolo gibadde ku lutikko e Lubaga mu ssaza lye Kampala.
Vicar General w’essaza lye Kampala Msgr Gerald Kalumba, Omujaguza gweyalonze okubuulira mu kitambiro kyamissaye, n’avumirira abantu abasitudde olutalo lw’okulwanyisa obwakabaka bwa Katonda, nga besiga ebyensi naddala omukugube gw’ensimbi, oguvuddeko obutabanguko okweyongera munsi.
Omujaguza Ssabasumba Dr Augustine Kasujja, yebazizza Omukama Katonda okuba nti bweyawaayo obulamu bwe okumuweereza ate naye n’amwesiga era n’amwanguyiza obuweerezabwe bweyakamalamu emyaka 50.
Yafuna obusaseredooti nga 06 January,1973.
Omubaka wa Paapa Mu Uganda, Pope Nuncio Ssabasumba Luigi Bianco, yeyetisse Obubaka bw’ Omutukuvu Paapa Francis asiimye Dr.Augustine Kasujja olwobuweereza obutabadeemu kwemulugunya ate mukwagala n’obuwulize.
Ssaabasumba Augustine Kasujja yeyasooka ku lukalu lwa Africa okubeera omubaka wa paapa. Abadde mubaka wa paapa mu mawanga ag’enjawulo okuli Belgium, Namibia, Tunisia n’awala.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye bannayuganda okufuna byebayigira ku Ssabasumba Dr Augustine Kasujja olw’eggonjebwa, okwagala omulimugwe, obwesimbu mwatambuliza emirimugye n’ebirala.
Katikkiro obubaka bwe abutisse minister wa government ez’ebitundu mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek Joseph Kawuki, n’amwebaza obutasuula buwangwabwe n’okwagala ennyo Kabakawe.
Ssabasumba we Ssaza ekkulu erye Kampala Paul Ssemogerere naye asiimye Ssaabasumba Dr Kasujja olw’obwesimbu, n’eggonjebwa, n’agamba nti wadde yawummula naye yewaayo eri Katonga ng’agoberera mmoto ye egamba nti “nzuuno nkola kyoyagala.
Omukolo guno getabyeko ba cardinal, abasumba nabalala okuva mu bitundu bya Uganda nyonna, ebweru w’eggwanga nga Ekenya, Taiwan, Nigeria, nawalala.
Omumyuka wa president eyawumula Kiwanuka Ssekandi, minister wa Kabaka, Owek. Kotirida Nakate Kikomeko n’abantu abalala bangi.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe.