Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye emirimu egyakolebwa Omugenzi Henry Kisajja Magumba Kyemba nti gyayamba nnyo mukukulanya Uganda.
Mu mubaka bwe obumusomeddwa omumyuka owokubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsimbirwa mu kusabira omugenzi okubadde mu Luttiko e Namirembe, Omutanda agambye nti Uganda efiiriddwa omuntu owomugaso abadde alwanirira enkyukakyuka n’enkulakulana ya bannauganda.
Omutanda agambye nti Kyemba abadde mwesimbu era nga mwerufu.
Henry Kisajja Magumba Kyemba yafiiridde ku myaka 82.
Yaliko omuyambi wa Ssaabaminister eyasooka Apollo Milton Obote, yaliko omuteesiteesi omukulu mu Ministry yébyobuwangwa mu 1972, ku mulembe gwa Iddi Amin Dada.
Mu 1986 Kyemba yegatta ku government ya NRM , náweebwa obwa Minister avunaanyizibwa ku Magana, yaliko Omuwandiisi wákakiiko akalondoola emirimu gyéssiga eddamuzi aka Judicial Service Commission.
Yaliko minister w’eby’obulamu ne minister omubeezi ow’eby’obulimi
Omumyuka wa Sabaminister wa Uganda owokusatu Hajati Nakadaama Lukia Isanga nga yaakiikiridde government eyawakati ategezezza nti Henry Kyemba ayambye nnyo government ya NRM okuweereza banna Uganda mu bintu bingi.
Ssentebe w’ekibiina ekitaba enzikiriza mu ggwanga era nga ye Ssabalabirizi w’e kannisa ya Uganda Bishop Kazimba Mugaru mu mubaka bwatisse Bishop Joshau Lwere , Ssabalairizi ayogeedde ku mugenzi nti alwaniridde nnyo okuleetawo emirembe mu Uganda
Okusabira omugenzi kukulembeddwamu Dean wa Lutikko e Namirembe The Most Venerable Canon Jonathan Kisawuzi Ssalongo, asabye abantu buligyo okukyuka okudda eri Katonda.
Kulwa family y’omugenzi Henry Kiyemba Alfred Nabeeta yabazizza Kitaabwe Olwokulwanirila enkulakulana ya Uganda n’okukuza abaana nga bagala eggwanga lyabwe.
Okusaba kwetabidwako Nalinnya Dorothy Nassolo , eyaliko Sabaminister wa Uganda Dr. Ndugu Ruhakana Lugunda, ayaliko Ssabalamuzi Wako Wambuzi, abakungu okuva mu government n’abantu abalala bangi.
Kyemba agenda kuziikibwa e Bugembe nga 26 October,2023, mu bitiibwa by’eggwanga by’eggwanga ebijjuvu.
Bisakiddwa : Ssebuliba Julius