Ssaabasajja Kabaka empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okusimbula emisinde gy’amazaalibwage ag’emyaka 67, nga 03 July,2022 mu lubiri lwe olwe Mengo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, yaabulidde obuganda amawulire gano mu lukiiko lwa Buganda olwa 29 olutudde mu Bulange e Mengo, olugendereddwamu okubuulira Obuganda emirimu egikoleddwa omwaka gw’ebyensimbi ogugwako ogwa 2021-22.
Mu kusooka emisinde gy’amazaalibwa g’e Mpologoma gyali gyakubeerawo mu April, wabula nekitasoboka kubanga Ssaabasajja Kabaka yali mitala wa mayanja ku mirimu emitongole.
Katikkiro mu ngeri yeemu abuulidde Obuganda nti ekitongole kya Ssaabasajja ekya Kabaka Foundation, kyalondeddwa ng’ekitongole ekisinze munsi yonna okuku𝝶aanya omusaayi, era mu kiseera kino omukungu Edward Kaggwa Ndagala akikulira ali mu America gye yagenze okukwasibwa engule eno.
Ebyo nga biri bityo, Katikkiro asabye government okukomya okujojobya nókugotaanya bannansi mu bintu byebasazeewo okukola okweggya mu bwavu, nga bwekoze ku kirime kye mmwanyi.
Katikkiro avumiridde endagaano eyakolebwa government eyawa olukusa kampuni engwira, okussalawo ebbeeyi ye mmwanyi mu ggwanga.
Awadde alipoota ku kirime ekyémmwanyi nga bwekiyimiridde mu Uganda, okuva Obwakabaka lwebwanyinyitiza kawefube we Mmwanyi terimba.
Mu nteekateeka eno, kampuni yóbwakabaka eya Mmwanyi terimba egenda okugula emmwanyi nókuzitunda ebweru wéggwanga yatandise mirimu gyayo, era wofiisi enkulu zasiddwa ku kizimbe Muganzirwazza.
Katikkiro era azeemu okulu𝝶amya abavubuka ku nkozesa ye mitimbagano, abasabye okukoma okuvumirako abantu wabula banonyezeeko ebikyuusa obulamu bwabwe.
Asabye ne government okubaako kyekola okukendeeza okupaaluuka kwébbeyi yébintu mu ggwanga, gyágambye nti ekosezza nnyo bannauganda bamufuna mpola, so nga babadde bakakosebwa néomuggalo gwékirwadde kya Covid 19.