Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalambula Amasiro ge Kasubi, okulaba omulimu gw’Okugaddaabiriza wegutuuse.
Kalalankoma asiimye nalambula ennyumba Muzibwazaalampanga, enyumba Bijjabukula, ttanka z’amazzi wamu n’ebyuma ebikozesebwa okuzikiza omuliro , ebyawebwayo government ya Japan.
Nnyinimu mu kulambulakwe eri amasiro alambuziddwa Katikkiro w’Amasiro ge Kasubi David Nkalubo, nga ayambibwako Abagiriinya ne ba Wabulaakayole.
Ssaabasajja asiimye nasisinkana olukiiko olwakwasibwa ogw’Okuzzawo amasiro olukulemberwa Owek Kaddu Kiberu,Abagirinya ababadde abasaale ennyo mu kuzzaawo ennyumba Muzibwazaalampanga ,era nabeebaza olw’omulimu oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Ssekkesa bweyasisinkana abakungu mu kitongole ky’amawanga amagatte eky’Obuwangwa ki UNESCO mu Lubiri lwe e Mengo , yasiima emirimu egizze gikolebwa abantube ku mitendera gyonna okulaba nga amasiro gano gaddawo.
Era yasiima UNESCO kizzeko amasiro ku bifo eby’enkizo mu nsi yonna gaddemu okulambulwa abalambuzi okuva mu buli nsonda yansi.
Bisakiddwa : Kato Denis