Olusiisira lwébyobulamu olutegekeddwa Obwakabaka okukebera abantu ba Ssaabasajja nÓkubajjanjaba endwadde ezenjawulo lukomekkerezeddwa, abantu ba Beene nebasaba ensiisira nga zino zeyongere okutegekebwa.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mu bubaka bwatisse omulangira Chrispin Junju Kiweewa mu kutongoza olusiisira lwebyobulamu mu Bulange e Mengo, alagidde abantube okudda mu malwaliro omuli abakugu bakeberebwe endwadde ate bajjanjabwe, olwo bakole emirimu egizza Buganda ne Uganda ku ntikko, nga essira lisaanye kussibwa ku kirwadde kya Kkookolo.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga, asabye government eyongere ku bungi bwebikozesebwa mu malwaaliro omuli eddagala, ebyuuma, okusasula abasawo Obulungi, ate n’Okukangavvula bonna ababba eddagala mu malwaliro.
Minister w’ebyobulamu Dr Jane Ruth Acheng nga akiikiriddwa Owek Richard Kabanda , agambye nti olusiisira luno lwakuyambako abantu okufuna Obujjanjabi obutali buteebereze ,naasaba abantu okulya emmere ezimba emibiri.
Minister w’ebyobulamu era nga yavunaanyizibwa ku wofiisi ya Nnaabagereka Owek Cotilda Nakate Kikomeko, agambye nti mu nkolagana y’Obwakabaka ne ministry y’ebyobulamu mu government ya wakati ewa essuubi nti abantu ba Buganda ne Uganda baakufuna Obujjanjabi obusaanidde.
Omwami wa Ssaabasajja amulamulirako essaza Kyaddondo Kaggo Ahmed Maganzaazi, asabye abantu ba Kabaka okufuba okwekebeza endwadde nga bukyaali , ate bafune Obujjanjabi obwetaagisa.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation ekitongole Kya Ssaabasajja ekiwomye omutwe mu nteekateeka Eno Omuk Eddy Kaggwa Ndagala, yeebazizza abantu ba Kabaka okujjumbira entekateeka za Ssaabasajja, naasaba abatafunye bujjanjabi batwaale ebiwandiiko ebibaweereddwa mu malwaaliro agasaanidde.
Abantu abenjawulo abafunye obujjanjabi nÓkukeberebwa endwadde ezenjawulo, beebazizza Omuteregga olwomukisa gwabawadde, nÓkubaagaliza Obulamu obulungi.
Bisakiddwa : Kato Denis ne Nakato Janefer
Ebifaananyi : MK Musa