Abayizi 1857 bebatikkiddwa ku matikkira ga Nkumba University ag’omulundi ogwa 25.
Abayizi abatikkiddwa ebitundu 53% bakyala, ate abaami bali ebitundu 47%.
Ssaaminister wa Uganda Robinah Nabbanja Musaafiri yoomu ku bayizi abatikkiddwa, era ye mugenyi omukulu ku matikkira gano.
Ssabaminiater Nabbanja atikkiddwa degree ey’okubiri eya Masters of Arts in Monitoring and Evaluation.
Minister w’ebyenguudo n’entambula Gen.Katumba Wamala aweereddwa ekitiibwa kya Honorary Doctorate okuva mu Nkumba University, okusiima olw’e mirimu gyakoledde eggwanga.
Munnamawulire wa Ssaabasajja Kabaka, Omutaka Sam Dick Kasolo naye yoomu ku batikkiddwa degree eyokubiri ssomo ly’ebyempuliziganya erya Public Relations and Strategic Communications eya Nkumba University.

Chancellor wa Nkumba University Emmanuel Katongole asabye government okusaawo enkola ekwasizaako amatendekero ag’obwannanyini kigasobozese okuvuganya obulungi ku mutendera gw’ensi yonna.#