Ssaabaminister wa Uganda Robinah Nabbanja Musafiiri saako akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi balidde matereke mu kukuza emyaka 25 egy’ekigo kya St Jude -Lukaya mu district y’eKalungu gyebiggweeredde nga omukolo gusaanikiddwa ebyobufuzi.
Omukolo gw’okujaguza emyaka 25 bukya St. Jude Parish ebangibwawo gwatandise ne mmisa eyakulembeddwaamu omwepisikoopi w’eMasaka Sereveruusi Jjumbi.
Akulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi bwaweereddwa akazindaalo okwogera ayambalidde Ssaabaminister Nabbanja olw’enguzi esusse mu ggwanga, era bakira ayogera bino nga bwajjukiza Ssaabaminister eby’amabaati ge Kalamoja agaagambibwa nti abakulu mu government baagezza nti nga ne Ssaabaminister yoomu yassibwa ku lukalala.
Kyokka ebigambo bya Ssenyonyi bisiikudde emmeeme ya Ssaabaminister Nabbanja n’atabukira Ssenyonyi, era Nabbanja abadde tasalikako musale alabudde Banna-Uganda okukomya okumulangira amabaati n’agamba nti ye amabaati tagatwalangako wuwe, era nti agenda kufaafaagana naabamulangira.
Omukolo guno gubaddeko n’okusonda ensimbi ez’okuzimba ennyumba za Bannadiini mu kigo kino, wabula Joel Ssenyonyi n’ababaka ba Parliament saako amyuka ssentebe wa district y’eKalungu Ssalongo Gerald Kiggundu bategeezezza nga bwebafuna obusente obutono.
Kyokka era Ssaabaminister Nabbanja ebigambo bino bimujje mu mbeera n’ayambalira abakulembeze bano wakati mu kubalumiriza nti government ebawa ensimbi nnyingi.
Omukolo guno gwetabiddwaako bannabyabufuzi bangi okubadde minister w’ebyokwerinda Vicent Bamulangaki Ssempijja ono nga awaddeyo obukadde busatu saako minister omubeezi ow’amazzi Aisha Ssekindi awaddeyo obukadde bubiri, omubaka wa Kalungu East Katabaazi Francis Katongole saako Dr. Ndiwalana Christine, mayor wa Masaka city Florence Namayanja n’abakulu abalala bangi.
Omusumba w’essaza lye Masaka Sereveruusi Jjumba asinzidde wano najjukiza government okusumuusa ekibuga Lukaya kifuulibwe Munisipaali, era asabye Banna-Lukaya okwenyigira mu kuzimba ekigo kyabwe ekya St. Jude.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru