Ssaabaminister wa Uganda Robina Nabbanja atandise okutalaaga district eziri mu bendobendo lya Mubende mi kaweefube w’okusitula eby’obulimi n’obulunzi okulwanyisa obwavu mu ggwanga.
Robbinah Nabbanja agamba nti tewali munnauganda atasobola kugaggawala nakubeera mu mbeera nnungi, singa afuna obukugu obumala kunima ey`omulembe.
Mu nteekateeka eno wategekeddwawo omwoleso n’emisomo egikwata ku by’obulimi ogubadde ku ssomero lya Kiryokya C/U pls mu Ggombolola ye Kalangalo mu district ye Mityan.
Nabbanja era awaddeyo pikipiki empya eri abalimisa okuva mu Ggombolola 5 mu district ye Mityana, ababadde tebalina zibayambe okutuuka obulungi ku balimi n’abalunzi.
Abalimisa bano kuliko Namayanja Annet okuva mu Ggombolola ye Bulera, Mutalambirwe Jackson owe Ggombolola ye Kalangalo, Kalugo Wilberforce owe Ggombolola ye Kikandwa, Nakitende Harriet owe Ggombolola ye Maanyi, ne Dr Mirembe Esther owe Ggombolola ye Kakindu.
Ssaabaminister era agabye tractor ezirima n’ebyuma ebifukirira ebirime eri abalimi abenjawulo.
Abafunye tractor kuliko Father Emmanuel Kiyemba owe Kigo kye Busunju wamu ne Mzee Muyiirwa Frumensio ssentebe w’ekyalo Kye Kiryokya B, basuubizza Okwegata ku bulimi obugaggawaza.
Minister Omubeezi avunanyizibwa ku by`obulimi, awanjagidde abalimi okuva ku nnima eyedda ey`okulima emmere ey`okulya yokka, nti kano kekadde bakyuse badde kunnima ey`omulembe egaggawaza.
Minister webyettaka nenkulakulana yebibuga Judith Nabakooba, agambye nti abalimi mu kitundu kye Mubende babadde basanga okusomosebwa olw`obutaba nabukugu bumala mu byobulimi n`obulunzi, nti era omukisa guno ogubawereddwa gugenda kubayamba okwetakuluzaako olunnabe lw`obwavu.
Aisha Ssekindi minister Omubeezi ow’amazzi era Omubaka omukyala owa district ye Kalungu, agambye nti mu kawefube wa government ow’okutumbula eby`obulimi batandise ku nteekateeka y`okubunyisa amazzi mu district ez’enjawulo agasobola okukozesebwa okugukirira ebirime.
Mugisha Patrick Ssentebbe wa district ye Mityana, agambye nti newankubadde enteekateeka eno ey`okutumbula eby`obulimi government gyeleese mu kitundu kyabwe nnungi nnyo, naye nti tegenda kuvamu kalungi konna singa amakubo gebalina okuyitamu okutambuza ebirime byabwe agafuuka empompogoma tegakolebwako.
Bisakiddwa: Musisi John