Ssaabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja aliko ensonga ez’enjawulo zaalambuludde zeyenyumiririzaamu, mu bbanga ery’emyaka 2 n’ekitundu gyeyakamala mu kifo kino.
Ssaabaminisita abadde mu ppulogulaamu ya Kkiriza Oba Gaana ku 89.2 Emmanduso, eweerezebwa Meddie Nsereko Ssebuliba.

Nga 17 January,2024 okuva ku ssaawa emu eyakawungeezi okutuuka ku ssaawa ssatu ez’ekiro.
Ssaabaminisita Nabbanja agambye nti kimusanyusa okulaba nga bannansi basiimu ku mirimu egyenjawulo egizze gikolebwa Government n’enteekateeka ezikolebwa okubakulaakulany omuli Parish Development Model n’Emyooga.
Agambye ye ssaabaminisita asoose okuddamu ebibuuzo ebibuuzibwa ku nsonga ez’enjawulo mu parliament biwera 1,269, nga bikwata ku buweereza bwa government eri bannauganda.
Akaatirizza nti eno government gyayongedde okuyita ey’abavubi nti ekoze ebirungi ebitabangawo ( oluvannyuma lw’akalulu ka 2021,president Museven ba minister beyasooka okulonda mu kabinenti empya yabayita bavubi)
Nabbanja asambazze ebigambibwa nti Uganda amabanja gagiri mu bulago, nti nga gaweza trillion 97, ategeezezza nti ye amabanja g’amanyi gali trillion 87.
Ebinnya mu Kampala ssaabaminisita asuubiza nti mu banga ttono bigenda kubeera lufumo , nti mubanga amagye ga SFC omulimu guno gaagutandikako era gakoze bulungi.
Ayogedde ku butebenkevvu mu ggwanga, enguudo eziri mu mbeera embi okuli ez’e Masaka, saako oluguudo oluva e Nateete okudda e Nakawuka nti lutandise okukolebwa.
Ssaabaminisita Robinah Nabbanja agambye nti Billion za shs 18 zebaagyanga ku bantu okubakebera Covid 19 ku kisaawe e Ntebbe, nga bayita mu kkampuni ya test and fly baaziwaayo mu nteekateeka y’okuzimba ekisaawe ky’ennyonyi Entebbe.
Agambye nti ku nsonga z’eby’obulamu waliwo entegeka ekolebwa buli Ggombolola yakubaamu omuzaalisa.
Eddwaliro lye Mulago kati lirongoosa emitima ababadde bagenda India bawonye okutindiga engendo.
Bwabuziddwa eddwaliro erye Lubowa ssaabaminisita agambye nti Peneti yafunamu obutakaanya ne ba contractor, neriyimirira, wabula nti balina essuubi nti lyakuggwa era lijanjabe bannauganda.
Asekeredde abali ku ludda oluvuganya government nti nebwebanegatta emirundi n’emirundi NRM yakubawangula emirundi gyonna.
Agambye nti abategeka okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu eri ebikyamu ebigenda mu maaso, ng’enguudo embi n’amalwaliro obutabaamu ddagala okuli n’abasibe abakwatibwa olw’ebyobufuzi abalemedde mu makkomera abalabudde nti tebageza nti kubanga police ebetegekedde.
Ssaabaminisita agambye nti ebisinga okumusanyusa ye eklezia n’ennyimba za mukama.
Bwabuziddwa gyeyeraba mu maaso agambye nti emikisa mu ggwanga mingi ddala singa oba nga wetegese bulungi ng’ate werabirira, ntk n’olwekyo bingi byakyasuubira okukola okuweereza bannauganda.#
Bikungaanyiziddwa: Tamale GeorgeWilliam